Ecclesiastes 5:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kirwadde kibi okugenda nga bwe yajja; magoba ki gaafuna okuteganira empewo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu, bw’atyo bw’aliddayo nga mwereere ng’ava mu nsi. Tewali ky’aggya mu mirimu gye, wadde kyayinza okugenda nakyo mu mukono gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina, ng'ali bwereere, bw'atyo bw'aliddayo, nga bwe yajja, so talitwala kintu olw'okutegana kwe, ky'ayinza okutwala mu mukono gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina ng'ali bwereere, bw'atyo bw'aliva ku nsi nga bwe yajja. Talibaako ky'ayinza kutwala ku bye yateganira byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina, ng'ali bwereere, bw'atyo bw'aliddayo, nga bwe yajja, so talitwala kintu olw'okutegana kwe, ky'ayinza okutwala mu mukono gwe.