Ecclesiastes 5:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amala ennaku zonna ez'obulamu bwe ng'aliira mu nzikiza, ng'ali mu kusoberwa, buyinike na busungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Na kino kya bulumi bwereere: nga bwe yajja era bw’atyo bw’aligenda; mugaso ki gwe yafuna mu kugoberera empewo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'ekyo kibi kinene, era nga bwe yajja bw'atyo bw'aligenda, era magoba ki g'alina n'okutegana n'ateganira empewo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima ekyo si kya bwenkanya. Omuntu agenda ngalo nsa nga bwe yajja. Ategana, kyokka ali ng'agoba empewo agikwate! Kale magoba ki g'afuna?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ekyo kibi kinene, ng'aligenda ng'ali bw'atyo mu bigambo byonna era; nga bwe yajja: era magoba ki g'alina n'okutegana n'ateganira mpewo?