Ecclesiastes 5:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze ndaba nga kirungi era kye kituufu oli okulya, okunywa n'okusanyukira mu kutegana kwe kwe yateganamu wansi w'enjuba, mu nnaku entono ez'obulamu bwe Katonda ze yamuwa; anti ogwo gwe mugabo gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike, ne mu kweraliikirira, ne mu bulumi ne mu kunyiiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ennaku ze zonna aliira mu kizikiza, era nga yeeraliikirira nnyo, era abaako endwadde n'obusungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku ze zonna, alya munyiikaavu, yeeraliikirira nnyo, aba mulwadde, era musunguwavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ennaku ze zonna aliira mu kizikiza, era yeeraliikirira nnyo, era abaako endwadde n'obusungu.