Ecclesiastes 5:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli muntu Katonda gw'awa obugagga n'ebintu, n'amusobozesa okubyeyagaliramu, n'amukkiriza n'okusanyukira mu biva mu kutegana kwe, ekyo nno kirabo kya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ekyo kye nnalaba era nga kye kirungi ekisaana kye kino, omuntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebirungi ebiva mu kutegana kwe kwonna kw'ategana wansi w'enjuba ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bwe yamuwa; kubanga ogwo gwe mugabo gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekirungi kye nalaba omuntu ky'asaanidde okukola, kwe kulya n'okunywa era n'okusanyukira mu birungi byonna bye yateganira obulamu bwe bwonna, Katonda bwe yamuwa ku nsi, kubanga ogwo gwe mugabo gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ekyo kye nnalaba nga kye kiwooma kye kisaana kye kino, omuntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebirungi mu kutegana kwe kwonna kw'ategana wansi w'enjuba ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bwe yamuwa: kubanga ogwo gwe mugabo gwe.