Ecclesiastes 5:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emirundi mingi talirowooza ku bumpi bwa nnaku ze, kubanga Katonda aliba amutwalirizza n'essanyu ly'omutima gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli muntu Katonda gw'awadde obugagga n'ebintu, era ng'amuwadde n'obuyinza okubiryangako n'okuddiranga omugabo gwe n'okusanyukiranga okutegana kwe; ekyo kye kirabo kya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu Katonda gw'awadde obugagga n'ebintu, n'amusobozesa okubiryako, n'akkiriza omugabo gwe, n'okusanyukira mu by'ateganidde, ekyo kirabo kya Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli muntu Katonda gw'awadde obugagga n'ebintu, era ng'amuwadde obuyinza okulyangako n'okuddiranga omugabo gwe n'okusanyukiranga okutegana kwe; ekyo kye kirabo kya Katonda.