Ecclesiastes 5:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ebirooto bijja lwa kweraliikirira kungi, n'okwogera okw'ekisiru kuva mu kwogera bingi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo, wadde omutima gwo ogwanguyiriza, okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda. Katonda ali mu ggulu ng’ate ggwe oli ku nsi; kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akamwa ko tekanguyirizanga, so n'omutima gwo guleme okwanguyirizanga okwogera ekigambo kyonna mu maaso ga Katonda; kubanga Katonda ali mu ggulu, naawe oli ku nsi; kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ofuganga olulimi lwo, era toyanguyirizanga kubaako ky'oyogera mu maaso ga Katonda, kubanga Katonda ali mu ggulu, ggwe oli ku nsi. Kale ebigambo byo bibeerenga bitono,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akamwako tekanguyirizanga, so n'omutima gwo guleme okwanguyirizanga okwogera ekigambo kyonna mu maaso ga Katonda; kubanga Katonda ali mu ggulu, naawe oli ku nsi: kale ebigambo byo bibeerenga bitono.