Ecclesiastes 5:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuteeyama kantu kisinga okweyama ate n'ototuukiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'oneeyamanga obweyamo eri Katonda, tolwangawo okubusasula; kubanga tasanyukira basirusiru: osasulanga ekyo kye weeyama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'obangako kye weeyamye eri Katonda, oyanguwanga okukituukiriza, kubanga Katonda tasanyukira basiru. Tuukirizanga kye weeyamye okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'oneeyamanga obweyamo eri Katonda, tolwangawo okubusasula; kubanga tasanyukira basirusiru: osasulanga ekyo kye weeyama.