Ecclesiastes 5:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awaba ebirooto ebingi, wabaawo ebitaliimu kantu n'ebigambo ntoko. Ggwe tya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, n’ogamba oyo atumiddwa gy’oli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olw’ebigambo byo, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Toganyanga kamwa ko okwonoonyesa omubiri gwo; so toyogereranga mu maaso ga mubaka nti kwali kusobya; Katonda kiki ekinaaba kimusunguwaliza eddoboozi lyo, n'azikiriza omulimu ogw'emikono gyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Toganyanga kamwa ko kukukozesa kibi, oluvannyuma n'ogamba omubaka wa Katonda nti wayogedde togenderedde. Lwaki oyogera ebinaasunguwaza Katonda n'azikiriza bye wakolerera!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Toganyanga kamwa ko okwonoonyesa omubiri gwo; so toyogeranga mu maaso ga malayika nga kwali kusobya: Katonda kiki ekinaaba kimusunguwaliza eddoboozi lyo, n'azikiriza omulimu ogw'emikono gyo?