Ecclesiastes 5:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'olaba eyo mu bitundu ng'abanaku banyigirizibwa, ng'obwenkanya n'obwannannyini bityoboolebwa, ekyo tokyewuunyanga. Kubanga omukungu omukulu alondoolwa amusingako, ate ne waggulu wa bano bombi eriyo ababasinga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe kituukirira bwe kityo olw'olufulube lw'ebirooto n'obutaliimu n'ebigambo ebingi, naye ggwe otyanga Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okulowooza ebingi ng'oli ng'aloota, kye kireetera omuntu okwogera ebitaliimu makulu. Naye ggwe otyanga Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe kituukirira bwe kityo olw'olufulube lw'ebirooto n'obutaliimu n'ebigambo ebingi: naye ggwe otyanga Katonda.