Ecclesiastes 5:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amagoba agava mu nsi bagagabana; kabaka y'atwala eby'omu nnimiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'onoolabanga abaavu nga babajooga, era nga banyigirizibwa, era nga tebakolerwa bya bwenkanya na mazima mu ggwanga, teweewuunyanga kigambo ekyo; kubanga asinga abagulumivu obugulumivu assaayo omwoyo; era waliwo abasinga bo obugulumivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'olabanga abaavu nga banyigirizibwa, era nga tebakolerwa bya bwenkanya na mazima mu ggwanga, teweewuunyanga, kubanga omukungu atunuulirwa oyo amusinga, era n'oyo n'atunuulirwa abo abamusinga okuba n'obuyinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'onoolabanga abaavu nga babajooga, era nga balya ensonga olw'amaanyi ne banyoola omusango mu ssaza, teweewuunyanga kigambo ekyo: kubanga asinga abagulumivu obugulumivu assaayo omwoyo; era waliwo abasinga bo obugulumivu.