Ecclesiastes 6:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ani amanyi ekirungi eri omuntu mu bulamu, mu nnaku entono omutali na mugaso, z'amalako ng'ekisiikirize? Yadde ani asobola okumumanyisa ekiribaawo wansi w'enjuba nga ye takyaliwo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ani amanyi ekisaanira omuntu mu bulamu bwe, ennaku zonna ez'obulamu bwe obutaliimu bw'amalawo ng'ekisiikirize? Era ani ayinza okubuulira omuntu ebinaabangawo oluvannyuma lwe wansi w'enjuba?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani amanyi ekisaanira omuntu mu bulamu bwe obumpi obutaliimu makulu, era obuyita obuyisi ng'ekisiikirize? Era ani ayinza okubuulira omuntu ebiribaawo ku nsi, omuntu oyo ng'amaze okugivaako?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ani amanyi ekisaanira omuntu mu bulamu bwe, ennaku zonna ez'obulamu bwe obutaliimu bw'amalawo ng'ekisiikirize? kubanga ani ayinza okubuulira omuntu ebinaabnga oluvannyuma lwe wansi w'enjuba?