Ecclesiastes 6:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu Katonda gw'awa obugagga, ebintu n'ekitiibwa, ng'omutima gwe tegukyajula mu bye gwegomba, ate Katonda n'atamuwa kubyeliira, bo abalala ne babirya, kino temuli kantu; kirwadde kibi!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omuntu Katonda gw'awa obugagga n'ebintu n'ekitiibwa, n'okubulwa n'atabulwa kintu olw'emmeeme ye ku ebyo byonna bye yeegomba, naye Katonda n'atamuwa buyinza kubiryako, naye omugenyi ye abirya; ekyo butaliimu, era ye ndwadde embi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kye ky'omuntu Katonda gw'awa obugagga, n'ebintu, n'ekitiibwa, ne watabaawo muntu oyo ky'ajula, kyokka Katonda n'atakkiriza muntu oyo kubyeyagaliramu, wabula omuntu omulala ow'ebweru n'abyeyagaliramu. Ekyo tekiriimu makulu, era kiruma nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)