Ecclesiastes 6:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli ne bwe yandizadde abaana ekikumi, n'awangaala emyaka mingi, ne bwe yandiwangadde kutuusa wa, naye nga teyeeyagalidde kimala mu bugagga bwe, n'ataziikibwa na bulungi, ku oyo nze ŋŋamba nti olubuto oluvuddemu lumusinga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu bw'azaala abaana kikumi (100), n'awangaala emyaka mingi, ennaku ez'emyaka gye ne ziba nnyingi, naye emmeeme ye n'etekkuta birungi, era nate n'ataba na kuziikibwa; njogera ng'omwana omusowole amusinga oyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu ayinza okuzaala abaana kikumi, era n'amala emyaka mingi ku nsi. Kyokka ne bw'awangaala atya, bw'aba tafunye ssanyu mu bulamu bwe, era nga taziikiddwa mu ngeri esaanidde, nze ŋŋamba nti omwana azaalibwa ng'afudde, asinga omuntu oyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'azaala abaana kikumi, n'awangaala emyaka mingi, ennaku ez'emyaka gye ne ziba nnyingi, naye emmeeme ye n'etekkuta birungi, era nate n'ataba na kuziikibwa; njogera ng'omwana omusowole amusinga oyo: