Ecclesiastes 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti omwana yajjira bwereere, n'alaga mu nzikiza, n'erinnya lye lizingiddwazingiddwa mu nzikiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ajjira mu butaliimu n'agendera mu kizikiza, n'erinnya lye libikkibwako ekizikiza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana oyo weewaawo talina ky'agasibwa okuzaalibwa. Azaalibwa ng'ali mu kizikiza, n'agenda ng'ali mu kizikiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga ajjira mu butaliimu n'agendera mu kizikiza, n'erinnya lye libikkibwako ekizikiza;