Ecclesiastes 6:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde teyalaba ku njuba yadde okugimanya, naye awummudde okusinga oli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
wabula newakubadde aba talabye njuba era nga tagitegedde; ono ye aba n'okuwummula okusinga oli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula newaakubadde aba talabye kitangaala, era nga takitegedde, aba awummudde okusinga oli,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nate talabanga njuba so tagimanyanga; ono ye aba n'okuwummula okusinga oyo: