Ecclesiastes 6:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugezi kiki ky'asinga omusiru? N'omwavu afunamu ki amanyi okweyisa obulungi mu maaso g'abalamu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru? Omwavu bw’amanya okwefuga mu maaso g’abalala, agasibwa ki?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omugezigezi asinga atya omusirusiru? Oba omwavu amanyi okutambulira mu maaso g'abalamu alina ki?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu ow'amagezi kiki ky'asingamu omusiru? N'omwavu kimugasa ki okuba omwegendereza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omugezigezi asinga atya omusirusiru? oba omwavu alina ki, amanyi okutambulira mu maaso g'abalamu?