Ecclesiastes 7:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Togambanga nti: “Lwaki emirembe egy'edda gyali mirungi okusinga egya leero?” kubanga ekyo okukibuuza tekiva mu magezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teweebuuzanga nti, “Lwaki ennaku ziri ez’edda zisinga zino?” Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Toyogeranga nti, “Nsonga ki ennaku ez'edda kyezaavanga zisinga zino?” Kubanga ekyo si kibuuzo kya magezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tobuuzanga nti: “Lwaki ebiseera ebyayita byali birungi okusinga bino ebiriwo kati?” Ekyo si kibuuzo kya magezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Toyogeranga nti Nsonga ki ennaku ez'edda kyezaavanga zisinga zinno? kubanga tobuuza kino lwa magezi.