Ecclesiastes 7:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'amagezi bwe gataasa, ne ssente bw'etaasa, naye amagoba agali mu kumanya ge gano: nti amagezi, agalina, gamuwa obulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amagezi kiwummulo, ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo, naye enkizo y’okumanya y’eno: amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amagezi kigo, nga ffeeza bw'eri ekigo, naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga amagezi kigo ekikuuma omuntu ng'ensimbi bwe zimukuuma. Naye okumanya kyekuva kusinga omugaso, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amagezi kigo, nga ffeeza bw'eri ekigo: naye okumanya kyekuva kusinga obulungi, kubanga annagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.