Ecclesiastes 7:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu biseera ebirungi beera musanyufu, ate mu lunaku olubi wekkaanye: Katonda y'akola luno na luli, omuntu aleme kuzuula na kimu ku birimuddirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka; naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko; Katonda eyakola ekimu era ye yakola ne kinnaakyo. Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaako mu nnaku ze ez’omu maaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Osanyukiranga ku lunaku olw'okulabiramu omukisa, era olowoolezanga ne ku lunaku olw'okulabiramu ennaku; Katonda yaliraanya olwo na luli, omuntu alemenga okulaba ekintu kyonna ekiribaawo oluvannyuma lwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu lwe bigenze obulungi, sanyuka; ate lwe bigenze obubi, manya nga Katonda ye ataddewo ebyo byombi, abantu baleme kutegeera bigenda kubaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Osanyukiranga ku lunaku olw'okulabiramu omukisa, era olowoolezanga ku lunaku olw'okulabiramu ennaku: Katonda yaliraanya olwo ku mabbali g'olwo, omuntu alemenga okulaba ekintu kyonna e.kiriba oluvannyuma lwe.