Ecclesiastes 7:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bulamu bwange buno omutali mugaso, byonna nabiraba: omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe, n'omubi awangaalira mu bugwenyufu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu bulamu bwange buno obutaliimu ndabye bino byombi: omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe, n’omukozi w’ebibi n’awangaalira mu bibi bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo byonna nnabirabira mu nnaku ez'obutaliimu bwange; waliwo omuntu omutuukirivu azikirira mu butuukirivu bwe, era waliwo omuntu omubi n'awangaalira mu kukola kwe obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino byombi mbirabidde mu bulamu bwange obutaliimu makulu: abantu abalungi bafa mangu, ate ababi ne bawangaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo byonna nabirabira mu nnaku ez'obutaliimu bwange: waliwo omuntu omutuukirivu azikirira mu butuukirivu bwe, era waliwo omuntu omubi awangaalira mu kukola obubi bwe.