Ecclesiastes 7:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kirungi okunyweza ekimu, ate n'ekirala n'otokiggyako mukono, kubanga atya Katonda mu byombi yeekuuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo kirungi okiyige, na kiri oleme kukibuusa maaso, kubanga oyo atya Katonda abyewala okubiyitiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kirungi okwatenga ekyo; weewaawo, na kiri tokiggyaako mukono gwo; kubanga atya Katonda anaavanga mu ebyo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kirungi weefugenga mu ebyo byombi, kubanga oyo atya Katonda, talema kubyewala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kirungi okwatenga ekyo; weewaawo, na kiri tokiggyaako mukono gwo: kubanga atya Katonda anaavanga mu byonna.