Ecclesiastes 7:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kirungi okugenda gye bakungubaga okusinga okugenda gye bali mu mbaga, kubanga eno nkomerero ya bonna; omulamu ekyo akirowoolereze mu mutima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava. Kubanga buli omu wa kufa, ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okugenda mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu kusinga okugenda mu nnyumba ey'okuliiramu embaga; kubanga eyo ye nkomerero y'abantu bonna; era n'omulamu alikiteeka ku mutima gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuyingira mu nnyumba mwe bakungubagira afudde, kisinga okuyingira mu nnyumba mwe bagabulira obugenyi, kubanga okufa ye nkomerero ya bonna, era kirungi abalamu okugirowoozangako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okugenda mu nnyumba ey'okuwuubaaliramu, kusinga okugenda mu nnyumba ey'okuliiramu embaga: kubanga eyo ye nkomerero y'abantu bonna; n'omulamu alikiteeka ku mutima gwe.