Ecclesiastes 7:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino byonna nabigeza mu magezi, ne ŋŋamba nti: “Nzija kufuuka mugezi,” naye byandi wala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo byonna nabyekenneenya n’amagezi ne ŋŋamba nti, “Mmaliridde okuba omugezi,” wabula kino kyandi wala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo byonna nnabigezesa n'amagezi gange; era nnayogera nti, “Ndiba mugezigezi;” naye amagezi ne gambeera wala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo byonna nabigezesa nga nkozesa amagezi gange, ne ŋŋamba nti: “Mmaliridde okuba omugezi.” Naye amagezi ne sigatuukako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo byonna nabikema lwa magezi: nayogera nti Ndiba mugezigezi; naye ne gambeera wala.