Ecclesiastes 7:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwange naguzza ku kuyiga, okwekenneenya n'okunoonya amagezi n'obutetenkanya, n'okutegeera obusiru obuli mu kukola obubi, n'obulalulalu obuli mu butamanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ntyo ne nkyusa omutima gwange nnoonye okutegeera, nekkanye, era nnoonyereze amagezi ndowooze ne ku bintu nga bwe biri, n’okutegeera obusirusiru bw’okukola ebibi: n’eddalu ery’obusirusiru.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akyuka, omutima gwange ne ngumalira ku kumanyanga, n'okukenneenyanga, n'okunoonyanga amagezi n'ensonga z'ebigambo, era n'okumanyanga ng'obubi busirusiru, ate ng'obusirusiru ddalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nneemalira ku kunoonya, n'okwekkaanya, n'okumanya amagezi, n'okutegeera ebintu nga bwe biri, era n'okumanya ng'okuba omubi kya busiru, era ng'obusiru ddalu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nakyuka, omutima gwange ne ngukakasa okumanyanga n'okukenneenyanga, n'okunoonyanga amagezi n'ensonga z'ebigambo n'okumanyanga ng'obubi busirusiru, era ng'obusirusiru ddalu: