Ecclesiastes 7:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nasanga ng'omukazi oyo akaawa okusinga olumbe, omutima gwe nga mutego na kitimba, n'emikono gye nga masamba. Asanyusa Katonda amusumattuka, naye omwonoonyi amukwasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa, ye mukazi alina omutima ogusendasenda, era ogusikiriza, era emikono gye gisiba ng’enjegere. Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo, kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne ndaba ekigambo ekisinga okufa okubalagala, ye mukazi; omutima gwe byambika n'ebitimba, n'emikono gye giri ng'enjegere; wabula buli asanyusa Katonda alimuwona; naye alina ebibi alikwatibwa ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nalaba ekikakali okusinga olumbe kattira: ye mukazi. Okwagala kw'akulaga, kukukwata ng'omutego oba ng'ekitimba. Emikono gye gy'akuwambaatiza, gikusiba ng'enjegere. Oyo akola ebyo Katonda by'asiima, ye aliwona omukazi, kyokka oyo atali mwegendereza, aliwambibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndaba ekigambo ekisinga okufa okubalagala, ye mukazi, omutima gwe byambika n'ebitimba; n'emikono gye giri ng'enjegere: buli asanyusa Katonda alimuwona; naye alina ebibi alikwatibwa ye.