Ecclesiastes 7:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Koweleti agamba nti: “Kino kye nazuula: nga ngatta kimu ku kimu ndyoke ntuuke ku ntetenkanya y'ebintu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omubuulizi agamba nti, “Laba, kino kyenvumbudde: “Okugatta ekintu ku kinnaakyo, okuzuula enkola y’ebintu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, kino kye nnalaba, bw'ayogera Omubuulizi, nga nteeka ekigambo ekirala ku kirala okunoonya ensonga,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubuulizi agamba nti: “Ekyo nakituukako nga nkubaganya nzekka ebirowoozo, okuzuula ekituufu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, kino kye nnalaba, bw'ayogera Omubuulizi, nga nteeka ekigambo ekirala ku kirala okunoonya ensonga: