Ecclesiastes 7:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bye nkyanoonya, naye bye sinnasanga. Omusajja omulungi mu lukumi namusanga, naye omukazi omulungi okusinga abalala sinnamusanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe nnali nga nkyanoonyereza nabulako kye nzuula, okuggyako okulaba omusajja omwesimbu omu mu basajja lukumi, kyokka mu bakazi bonna ssaalabamu n’omu atuukiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
emmeeme yange ky'ekyanoonya, naye sinnakiraba. Omusajja omu mu lukumi (1,000) gwe nnalaba; naye omukazi mu abo bonna ssaalabayo n'omu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye nayagala okumanya, naye nga sinnakizuula kye kino: mu bantu olukumi, nalabamu omusajja omu asaanira, naye mu abo bonna, omukazi simulabangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
emmeeme yange ky'ekyanoonya, naye sinnakiraba: omusajja omu mu lukumi gwe nnalaba; naye omukazi mu abo bonna gwe ssirabanga.