Ecclesiastes 7:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'okutuliikirira kw'amaggwa agaaka wansi w'entamu, n'enseko z'omusiru bwe ziba; na kino nakyo temuli kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuseka kw’abasirusiru kuli ng’okutulikatulika kw’amaggwa agali mu muliro gw’entamu; na kino nakyo butaliimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amaggwa nga bwegatulikira wansi w'entamu, n'enseko z'omusirusiru bwe ziba bwe zityo; era n'ezo butaliimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga enku ez'amaggwa nga bwe zitulikira mu kyoto wansi w'entamu, n'okuseka kw'omusiru bwe kutyo bwe kuba: tekubaamu makulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amaggwa nga bwe gatulikira wansi w'entamu, enseko z'omusirusiru bwe ziba bwe zityo: era n'ezo butaliimu