Ecclesiastes 8:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aluwa ali ng'omugezi? Y'ani amanyi okunnyonnyola ebintu? Amagezi g'omuntu gacamula amaaso ge, ne gakkakkanya okwetippa kw'entunula ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ani afaanana omuntu omugezi amanyi okunnyonnyola buli kintu? Amagezi gaakaayakanyisa obwenyi bw’omuntu, ne gakyusa emitaafu gyamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani ali ng'omuntu omugezigezi? Era ani amanyi okunnyonnyola amakulu g'ebintu? Amagezi g'omuntu ganyiriza amaaso ge, n'obukakanyavu bw'amaaso ge ne buwaanyisibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ani yenkana omugezi? Oba ani amanyi okunnyonnyola amakulu g'ebintu? Amagezi ganyiriza entunula y'omuntu, n'obunyiikaavu bwe bwonna ne buggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ani ali ng'omugezigezi? era ani amanyi ekigambo bwe kitegeezebwa? Amagezi g'omuntu ganyiriza amaaso ge, n'obukakanyavu bw'amaaso ge ne buwaanyisibwa.