Ecclesiastes 8:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era nalaba ababi nga baziikiddwa; baateranga okuyingira n'okufuluma mu kifo ekitukuvu, ne batenderezebwa mu kibuga olw'ebyo bye baakolanga. Ne mu kino temuli kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndabye abantu abakozi b’ebibi nga baziikibwa, abo abaawaanibwanga mu kibuga nga bazze mu kifo ekitukuvu. Na kino nakyo butaliimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate nnalaba ababi nga babaziika mu ntaana; so nga bagendanga emirundi mingi era bava mu kifo ekitukuvu, baatenderezebwanga mu kibuga kyennyini mwe baakoleranga obubi; baziikibwa mu kitiibwa naye ne beerabirwa mu kibuga, era n'ekyo butaliimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ekirala, abantu ababi, kyokka abaagendanga emirundi emingi mu Kifo Ekitukuvu, nalaba nga baziikibwa mu kitiibwa era nga tebajjukirwa nti baali babi mu kibuga kyennyini mwe baakoleranga eby'effujjo. Kale n'ekyo tekiriimu makulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate nalaba ababi nga babaziika, ne bajja eri entaana; n'abo abaakolanga eby'ensonga ne bagenda nga bava mu kifo ekitukuvu, ne beerabirwa mu kibuga: era n'ekyo butaliimu.