Ecclesiastes 8:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebikolwa ebibi bwe bitalamulibwa mangu, emitima gy'abaana b'abantu gijjula ebirowoozo by'okukola obubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu bw’asalirwa omusango n’atabonererezebwawo, emitima gy’ababi gijjula kuteekateeka kukola bubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw'abaana b'abantu gweyongerera ddala mu bo okukola obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibonerezo ekisalirwa akoze ekikolwa ekibi bwe kitaweebwa mangu, abantu beeyongerera ddala okukola ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw'abaana b'abantu kyeguva gukakasibwa ddala mu bo okukola obubi.