Ecclesiastes 8:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Newandibadde omwonoonyi akola ekibi emirundi kikumi, era ne yeeyongera okuwangaala, naye mmanyi nti abatya Katonda biribagendera bulungi, abo abamussaamu ekitiibwa mu maaso ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde ng’omuntu omubi azza emisango kikumi, ate n’awangaala, nkimanyi ng’abatuukirivu, abo abatya Katonda bijja kubagendera bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alina ebibi newakubadde ng'akola obubi emirundi kikumi (100) n'awangaala nnyo, era naye mazima mmanyi ng'abo abatya Katonda, banaabanga bulungi, abatya mu maaso ge;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwonoonyi newaakubadde akola ebibi emirundi kikumi n'awangaala nnyo, kyokka era mazima mmanyi ng'abatya Katonda, abamussaamu ekitiibwa, be banaabeeranga obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alina ebibi newakubadde ng'akola obubi emirundi kkumi n'awangaala nnyo, era naye mazima mmanyi ng'abo abatya Katonda banaabanga bulungi, abatya mu masso ge: