Ecclesiastes 8:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waliwo ekitaliimu ekigwawo ku nsi: abatuukirivu abagwirwa ekyandigwiridde ababi, n'ababi abafuna ekyandifuniddwa abatuukirivu. Na kino nakyo ŋŋamba nti temuli kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo ekintu ekirala ekiraga obutaliimu ekiri ku nsi: abantu abatuukirivu batukibwako ebyo ebisaanira ababi, ate abatali batuukirivu ne batuukibwako ebyo ebigwanira abatuukirivu. Kino nakyo nkiyita butaliimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo obutaliimu obukolebwa ku nsi; nga waliwo abantu abatuukirivu abagwibwako ebiriŋŋaanga omulimu ogw'ababi; naye era waliwo abantu ababi abagwibwako ebiriŋŋaanga omulimu ogw'abatuukirivu. Ne njogera nti n'ekyo butaliimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo era ekirala ekitaliimu makulu ekibaawo ku nsi: abantu abalungi okuweebwa ekibonerezo ekyandiweereddwa abakoze ebibi, n'abantu ababi okuweebwa empeera eyandiweereddwa abakoze ebirungi. Ekyo nakyo ŋŋamba nti tekiriimu makulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo obutaliimu obukolebwa ku nsi; nga waliwo abantu abatuukirivu abagwibwako ebiriŋŋanga omulimu ogw'ababi; naye waliwo abantu ababi abagwibwako ebiriŋŋanga omulimu ogw'abatuukirivu: ne njogera nga n'ekyo butaliimu.