Ecclesiastes 8:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyenva mpagira eky'okusanyuka, kubanga omuntu talina kirungi wansi w'enjuba, mpozzi okulya, okunywa n'okwesanyusa; anti kino ky'anaggya mu kutegana kwe mu bbanga ery'obulamu bwe Katonda lye yamuwa wansi w'enjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ntyo nteesa nti omuntu yeyagalire mu bulamu: kubanga wansi w’enjuba tewali kisinga, wabula omuntu okulya n’okunywa n’okweyagala. Kale essanyu linaamuwerekeranga mu mirimu gye, ennaku zonna ez’obulamu bwe Katonda bw’amuwadde wansi w’enjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nsiima ebinyumu, kubanga omuntu talina kintu kyonna ekisinga obulungi wansi w'enjuba wabula okulyanga n'okunywanga n'okusanyukanga; kubanga ebyo binaabeeranga naye mu kutegana kwe ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bw'amuwadde wansi w'enjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo nsemba okwesanyusa, kubanga omuntu talina kirungi kirala ku nsi, okuggyako okulya, n'okunywa, n'okusanyuka, kubanga eryo, lye ssanyu ly'alibeera nalyo mu kutegana kwe, ekiseera kyonna eky'obulamu bwe, Katonda bw'amuwa ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nsiima ebinyumu, kubanga omuntu talina kintu kyonna ekisinga obulungi wansi w'enjuba wabula okulyanga n'okunywanga n'okusanyukanga: kubanga ebyo binaabeeranga naye mu kutegana kwe ennaku zonna ez'obulamu bwe Katonda bw'amuwadde wansi w'enjuba.