Ecclesiastes 8:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nassaako omwoyo njige amagezi, ntegeere n'okufaabiina kw'omuntu mu nsi, anti emisana n'ekiro amaaso go tegalaba tulo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe nanoonyereza amagezi ne neetegereza okutegana kw’omuntu ku nsi kuno, nga teyeebaka emisana n’ekiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe nnassaayo omutima gwange okumanya amagezi, n'okulaba emirimu egikolebwa ku nsi, nnazuula nti waliwo abantu abaatafuna tulo mu maaso gabwe emisana n'ekiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nafuba ennyo okufuna amagezi, n'okumanya emirimu gyonna egikolebwa ku nsi, nalaba ng'omuntu ayinza okumalako olunaku n'ekiro kyonna nga teyeebase,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe nnassaayo omutima gwange okumanya amagezi, n'okulaba emirimu egikolebwa ku nsi: (kubanga waliwo era atafuna tulo mu maaso ge emisana n'ekiro:)