Ecclesiastes 8:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne ndaba byonna Katonda bye yakola. Teri asobola kutegeera bikolebwa wansi w'enjuba. Omuntu ne bw'alitegana atya okubyefumiitiriza, talibitegeera. Omugezi ne bw'alyetenda okubimanya, talibiggukamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba ebyo byonna Katonda by’akoze, nga tewali n’omu ayinza kutegeera Katonda by’akola wansi w’enjuba, omuntu ne bw’agezaako ennyo okukinoonyereza tayinza kukivumbula. Newaakubadde omuntu omugezi yeefuula nti akimanyi, tayinza kukitegeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne ndaba omulimu gwonna ogwa Katonda, omuntu nga tayinza kukebera mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba. Kubanga omuntu ne bw'ategana atya okugukebera, naye taligulaba; weewaawo, nate omugezigezi ne bw'alowooza okugumanya, nate taliyinza kugulaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'atasobola kutegeera ebyo byonna Katonda by'akola. Ne bw'ategana atya okunoonyereza, tayinza kubizuula. Abantu abagezi bayinza okugamba nti babimanyi, naye mu mazima tebabimanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo ne ndaba omulimu gwonna ogwa Katonda; omuntu nga tayinza kukebera mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba: kubanga omuntu ne bw'ategana atya okugukebera, naye taligulaba; weewaawo, nate omugezigezi ne bw'alowooza okugumanya, nate taliyinza kugulaba.