Ecclesiastes 8:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akwata ekiragiro kye, talibaako kabi kamutuukako; omutima omugezi gutegeera obudde obutuufu n'entambula y'ebintu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo agondera ekiragiro kye talituukibwako kabi, omutima ogw’amagezi gulimanya ekiseera ekisaana okukoleramu ekintu gundi, n’engeri ey’okukolamu ekintu ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli akwata ekiragiro talibaako kigambo kibi ky'alimanya; n'omutima gw'omuntu omugezigezi gumanya ekiseera n'okuteesa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abagondera ekiragiro kye, tebatuukibwako kabi, era omuntu omugezi, amanya obudde obutuufu, n'engeri esaanira okukituukiririzaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli akwata ekiragiro talibaako kigambo kibi ky'alimanya; n'omutima gw'Omuntu omugezigezi gwawula ekiseera n'okuteesa: