Ecclesiastes 8:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli kintu kirina obudde bwakyo n'engeri zaakyo, newandibadde ng'ennaku y'omuntu emuzitoowerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga waliwo ekiseera ekituufu n’enkola esaana ku buli kintu, newaakubadde ng’obuyinike bw’omuntu bumuzitoowerera okukamala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli kigambo ky'oyagala okukola kibaako ekiseera kyakyo n'okuteesa kwakyo; kubanga obuyinike bw'omuntu bumuzitoowerera nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga buli kintu kiba n'ekiseera kyakyo ekituufu okukikoleramu, newaakubadde ng'omuntu aba n'obuzibu bungi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga buli kigambo ky'oyagala okukola kibaako ekiseera kyakyo n'okuteesa kwakyo; kubanga obuyinike bw'omuntu bumuzitoowerera nnyo: