Ecclesiastes 8:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Engeri omuntu gy'atamanyi biri mu maaso, ani ayinza okumubuulira ebirijja?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe watali muntu amanyi binaabaawo, kale ani ayinza okumutegeeza ebinajja?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tamanyi ekiribaawo, kubanga ani ayinza okumubuulira bwe kiriba?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga tamanya bigenda kubaawo, era tewali ayinza kumutegeeza we biribeererawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga tamanyi ekiribaawo: kubanga ani ayinza okumubuulira bwe kiriba?