Ecclesiastes 8:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino byonna nabiraba bwe nekkaanya ebikolwa byonna ebikolebwa wansi w'enjuba, mu budde omuntu mw'afugira omuntu okumulabya ennaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo byonna bye nalaba bwe nagezaako okwekenneenya buli kintu ekikolebwa wansi w’enjuba. Waliwo ekiseera omufuzi buli lw’abinika baafuga, kyokka nga yeerumya yekka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo byonna nnabiraba, ne nzisaayo omutima gwange eri buli mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba, wabaawo ekiseera omuntu omu bw'abeera n'obuyinza ku mulala olw'okumukola obubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo byonna nabiraba nga ndowoolereza ku byonna abantu bye bakola ku nsi, nga ndaba abantu bwe bafugisa bannaabwe obukambwe ne babalumya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo byonna nabiraba, ne nzisaayo omutima gwange eri buli mulimu ogukolebwa wansi w'enjuba: wabaawo ekiseera omuntu omu bw'abeera n'obuyinza ku mulala olw'okumukola obubi.