Ecclesiastes 9:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byonna bino nabikubaganyaako mu mutima gwange, ne ntegeera nti abatuukirivu, abagezi n'emirimu gyabwe biri mu mikono gya Katonda. Naye omuntu tamanyidde ddala oba kwagala oba bukyayi; byonna mu maaso gaabwe temuli kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndowooza ku ebyo, ne nzuula ng’omutuukirivu n’omugezi bye bakola biri mu mukono gwa Katonda; naye tewali muntu n’omu amanyi obanga kwagalibwa oba kukyayibwa bye bimulindiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ebyo byonna n'abiteeka ku mutima gwange, okuketta ebyo byonna; ng'abatuukirivu n'abagezigezi n'emirimu gyabwe bali mu mukono gwa Katonda; oba nga kwagala oba nga kukyawa omuntu takumanyi, byonna ebiri mu maaso gaabwe butaliimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo byonna nabirowooza ne mbyetegereza, ne ndaba nga Katonda ye afuga abantu abalungi n'abagezi era ne bye bakola, kyokka nga tebayinza kusinziira ku bibatuukako kumanya ng'abaagala, oba nga tabaagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebyo byonna nabiteeka ku mutima gwange, okuketta ebyo byonna; ng'abatuukirivu n'abagezigezi n'emirimu gyabwe bali mu mukono gwa Katonda: oba nga kwagala oba nga kukyawa omuntu takumanyi: byonna biri mu mberi yaabwe.