Ecclesiastes 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nalaba ekirala wansi w'enjuba: embiro teziwangulibwa asinga kuwenyuka, newandibadde olutalo, asinga buzira; n'emmere tejjira bagezi, wadde obugagga abategeevu, oba obuganzi abayivu, wabula buli omu asanga akadde n'akakisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate nalaba nga wansi w’enjuba, ng’ow’embiro ennyingi si y’awangula mu mpaka, era ne kirimaanyi si y’awangula olutalo, ng’ate bakalimagezi bonna si be baatiikirira; wabula ng’omukisa gukwata bukwasi oyo aba aliwo mu kifo ekituufu ne mu kiseera ekituufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne nzirayo ne ndaba wansi w'enjuba nga ab'embiro si be basinga empaka ez'embiro, so n'ab'amaanyi si be basinga okulwana, so n'abagezigezi si be bafuna emmere, so n'abantu abategeevu si be bafuna obugagga, so n'abakabakaba si be baganja; naye bonna bibagwira bugwizi ebiseera n'ebigambo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era neetegereza ne ndaba nga ku nsi kuno, abawenyuka ennyo emisinde, si be bawangula empaka z'okudduka; ab'amaanyi, si be bawangula olutalo; n'abagezi si be bafuna ebibayimirizaawo; n'abategeevu, si be bafuna obugagga; era n'abalina obumanyirivu, si be bafuna emirimu egya waggulu. Naye omukisa n'ebiseera ebigwawo, bonna bibagwako bugwi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne nzirayo ne ndaba wansi w'enjuba ng'ab'embiro si be basinga empaka ez'embiro, so n'ab'amaanyi si be basinga okulwana, so n'abagezigezi si be bafuna emmere, so n'abantu abategeevu si be bafuna obugagga, so n'abakabakaba si be baganja; naye bonna bibagwira bugwizi ebiseera n'ebigambo.