Ecclesiastes 9:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate era omuntu tamanyi nkomerero ye; wabula ng'ebyennyanja ekiragala ekibi bwe kibikwata, nga n'ennyonyi bwe zikwatibwa ekitimba, n'abantu bwe bategwa batyo obudde obubi obubazinduukiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omuntu tamanya kinaamubaako. Ng’ekyenyanja bwe kikwatibwa mu muyonjo, oba ennyonyi nga bw’egwa ku mutego, n’abaana b’omuntu bwe batyo bwe beesanga mu biseera eby’akabi, ebibatuukako nga tebabyetegekedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga n'omuntu tamanyi kiseera kye. Nga ebyennyanja ebikwatibwa mu mugonjo omubi, era ng'ennyonyi ezikwatibwa mu kakunizo, era bwe batyo abaana b'abantu bateegebwa mu kiseera ekibi, bwe kibagwira nga tebamanyiridde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga omuntu tamanya kiseera kye we kituukira. Ng'ebyennyanja bwe bikwatibwa mu katimba, era ng'ebinyonyi bwe bikwatibwa mu mutego, n'abantu bwe bakwatibwa bwe batyo mu kiseera ekibi nga tebakirindiridde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga n'omuntu tamanyi kiseera kye: ng'ebyennyanja ebikwatibwa mu mugonjo omubi, era ng'ennyonyi ezikwatibwa mu kakunizo, era bwe batyo abaana b'abantu bateegebwa mu kiseera ekibi, bwe kibagwira nga tebamanyiridde.