Ecclesiastes 9:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliwo ekibuga ekitono, nga mulimu abantu batono, kabaka ow'amaanyi n'akirumba, n'akitaayiza, n'akituumako embibiro ennene okukyetoolooza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
waaliwo akabuga nga kalimu abantu batono ddala, kabaka ow’amaanyi n’ajja n’akazingiza n’akazimbako ekigo ekinene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waaliwo ekibuga ekitono n'abasajja abaali omwo nga si bangi; kabaka omukulu n'akitabaala, n'akizingiza, n'akizimbako enkomera ennene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waaliwo ekibuga ekitono, era n'abatuuze baamu nga si bangi, kabaka ow'amaanyi n'akirumba. N'akizingiza, n'ategekawo ebinaamenya ebisenge byakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
waaliwo ekibuga ekitono n'abasajja abaali omwo si bangi; kabaka omukulu n'akitabaala, n'akizingiza, n'akizimbako amakomera amanene: