Ecclesiastes 9:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno mu kibuga ekyo mwalimu omusajja omunaku, naye nga mugezi, eyawonya ekibuga n'amagezi ge. Naye tewali akyajjukira musajja oyo omunaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kabuga ako mwalimu omusajja omugezi, omwavu, ng’amanyi eky’okukola okuwonya akabuga ako, bw’atyo mu magezi ge ne kanunulwa. Naye nno ne wabulawo amujjukira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne walabika mu kibuga omwo omusajja omwavu omugezigezi, oyo n'awonya ekibuga olw'amagezi ge; era naye ne wataba muntu ajjukira omusajja oyo omwavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kibuga ekyo, mwalimu omusajja omwavu, naye nga mugezi. N'akozesa amagezi ge n'awonya ekibuga ekyo, kyokka ne wataba ajjukira musajja oyo omwavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo ne walabika omwo omusajja omwavu omugezigezi, oyo n'awonya ekibuga olw'amagezi ge; era naye ne wataba muntu ajjukira omusajja oyo omwavu.