Ecclesiastes 9:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: “Amagezi malungi okusinga amaanyi, newandibadde ng'amagezi g'omunaku gagayibwa n'ebigambo bye tebiwulirwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaba nti newaakubadde ng’amagezi gasinga amaanyi, naye ow’amagezi bw’aba omwavu, anyoomebwa, ne ky’ayogera tekissibwako mwoyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ne njogera nti, Amagezi gasinga amaanyi obulungi, era naye amagezi g'omwavu ganyoomebwa, ebigambo bye ne batabiwulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ne ŋŋamba nti weewaawo amagezi gagasa okusinga amaanyi, naye amagezi g'omwavu ganyoomebwa, n'ebigambo bye tewaba abiwuliriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ne njogera nti Amagezi gasinga amaanyi obulungi: era naye amagezi g'omwavu ganyoomebwa, ebigambo bye ne batabiwulira.