Ecclesiastes 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna enkomerero ye emu: omutuukirivu n'omubi, omulungi n'omubi, omulongoofu n'atali mulongoofu, atambira ebitambiro n'atatambira; nga bwe kiri ku mulungi, bwe kiri ne ku mubi; nga bwe kiri ku alayira, bwe kiri ne ku atalayira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutuukirivu n’omwonoonyi, omulungi n’omubi, omuyonjo n’omujama, abo abawaayo ssaddaaka n’abo abatagiwaayo bonna gye bagenda y’emu. Nga bwe kiri eri omuntu omulungi, era bwe kiri n’eri omwonoonyi; Nga bwe kiri eri abo abalayira, era bwe kiri n’eri abo abatya okulayira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okubanga byonna byenkana ebijjira bonna, waliwo ekigambo ekimu eri omutuukirivu n'omubi; eri omulungi n'eri atali mulungi, eri omulongoofu n'atali mulongoofu; eri oyo asala ssaddaaka n'eri oyo atasala ssaddaaka. Nga omulungi bw'ali, n'alina ebibi bw'ali bw'atyo; n'oyo alayira ali ng'oyo atya ekirayiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebituuka ku bantu bonna bye bimu awatali kusosolamu: bituuka ku beegendereza ne ku boonoonyi, ku balungi, ku abo abafaayo okwenenya ebibi byabwe, ne ku abo abatafaayo kubyenenya, ku bawaayo ebitambiro ne ku batawaayo bitambiro. Omuntu omulungi n'atali mulungi, oyo alayira n'oyo atya okulayira, bonna baba kye kimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Byonna byenkana okujjira bonna: waliwo ekigambo ekimu eri omutuukirivu n'omubi; eri omulungi n'eri omulongoofu n'eri atali mulongoofu; eri oyo asala ssaddaaka n'eri oyo atasala ssaddaaka: ng'omulungi bw'ali, alina ebibi bw'ali bw'atyo; n'oyo alayira ali ng'oyo atya ekirayiro.