Ecclesiastes 9:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye kibi mu byonna ebiri wansi w'enjuba: okulaba nga bonna ekibalindiridde kye kimu; emitima gy'abaana b'abantu gijjudde bwonoonefu, ne mu mitima gyabwe mulimu obulalulalu ebbanga lyonna nga balamu, ate oluvannyuma ne beegatta ku baafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi w’enjuba. Ate emitima gy’abantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; n’oluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo kibi mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba, ng'ekigambo ekimu ekibajjira bonna; weewaawo, era omutima gw'abaana b'abantu bonna gujjudde obubi, era eddalu liri mu mutima gwabwe nga bakyali balamu, awo oluvannyuma, lw'ekyo ne badda mu bafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibi ekiri mu byonna ebikolebwa ku nsi, kwe kuba nti ekintu kye kimu ekituuka ku bonna kyenkanyi. Era emitima gy'abantu bonna abalamu gijjudde ebibi n'eddalu, n'ekiddirira kufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyo kibi mu byonna ebikolebwa wansi w'enjuba, ng'ekigambo ekimu ekibajjira bonna: weewaawo, era omutima gw'abaana b'abantu gujjudde obubi, era eddalu liri mu mutima gwabwe nga bakyali balamu, awo oluvannyuma, lw'ekyo ne badda mu bafu.