Ecclesiastes 9:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli akyali n'abalamu akyalina essuubi; anti embwa ennamu nnungi okukira empologoma enfu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omuntu omulamu aba n’essuubi, wadde embwa ennamu esinga empologoma enfu!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga eri oyo agattibwa n'abalamu, oyo aba n'essuubi, kubanga era n'embwa ennamu ekira empologoma enfu obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye buli akyali omulamu, aba n'essuubi, kubanga n'embwa ennamu esinga empologoma enfu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga eri oyo agattibwa n'abalamu bonna waliwo essuubi: kubanga embwa ennamu ekira empologoma enfu obulungi.