Ecclesiastes 9:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga abalamu bamanyi nti ba kufa, naye abafu tebalina kirala kye bamanyi; tebakyalinayo na mpeera ndala, kubanga n'eby'okubajjukira byaggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga buli kiramu kimanya nga kya kufa, naye abafu tebaliiko kye bamanyi: tebakyagasa wadde okujjukirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abalamu bamanyi nga balifa, naye abafu tebaliiko kye bamanyi, era tebakyalinayo mpeera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weewaawo abalamu bamanyi nga balifa, naye bo abafu tebaliiko na kye bamanyi. Baba tebakyalinayo na mpeera, kubanga baba tebakyajjukirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi, so nga tebakyalina mpeera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa.